Re:Oba oluyita luto...Gashumba starts Rwandese radio 7 Months, 2 Weeks ago
Aisha Nabukeera atandise okusoma
Friday, 22nd February, 2008
Bya Angel Lubowa
AISHA nabukeera, akyakandaaliridde okugenda mu Amerika okulongoosebwa atandise okusoma mu City Parents School okumpi n’Olubiri lw’e Mmengo oluvannyuma lw’okutuula emyaka ebiri ng’ajjanjabwa ebiwundu by’omuliro.
nabukeera eyayokebwa omu-liro mu February wa 2006 ng’asoma P7 mu Nyendo Public School yeegasse ku City Parents mu lusoma luno ng’ali mu P7.
Kino kiddiridde Frank Gashumba eyakulira eby’okumusondera ssente okulwawo okumutwala mu Amerika okutereezebwa olususu.
Gashumba yategeezezza nti essaawa yonna asitula kubanga ssente ezibadde zibasibye zaafunise oluvannyuma lw’omukazi Omumerika Sincere okuwaayo obukadde 36. Obukadde 30 ze zibadde zaasondebwa ku 66 ezeetaagisa.
Yagasseeko nti nabukeera yali waakusitula nga November, 2 2007 kyokka ne kitasoboka olwa ofiisi ya Pulezidenti eyali asuubizza okubawa ssente ezaali zibulako okubawaako Doola 5000 zokka (8,000,000/- eza kuno).
Yagambye nti baawandiikidde ab’eddwaliro ly’e Shiriners Childrens Hospital e Texas mu Amerika libawe olunaku olupya.
Re:Oba oluyita luto...Gashumba starts Rwandese rad 7 Months, 2 Weeks ago
Kati Meanwhile ate yye Gashumba yafunye eziggulawo radio ennamba? Internet radio, pirate radio, oba radio ya FM oba nandiki AM, ate nga eri legal nemisolo misasule? Anti Uganda yensi ebiseera bino, omuddugavu atari we west okuggulawo business alina kumala kusasula misolo gyonna. Aah kozzi!! Kati radio yyo weeri?
Re:Oba oluyita luto...Gashumba starts Rwandese rad 7 Months, 2 Weeks ago
O luusi kiba kirungi noddamu ebintu wano nga tomaze kusoma kubya munno mpozzi nosoma mutwe naye oluusi nagwo gubuza buza , Kati bwe mmaze okusoma ebya Meli nenelabira kiki kyenina okuddamu naye ndowooza tumale okwebaliza ku Gashumba naddala nga maze okututegeeza nti ssente zonna zabadde yetaaga azifunye .
Kati bannange wabeewo anyamba olwokuba munnaffe oyo yakyalako wano mulowooza ekirowoozo kya radio teyakifunye nga maze okuwulira enkyuka kyuka ze tufunye ku eno eyaffe nga kati alinda tumugambe bugambi nti nga bwetwaali tukuwulidde count us in, kati nange awo wemmalira nga Meli nti okuwunga lwandiwunze ngo mwaana amaze okutwalibwa mu ddwaliro okujjanjabibwa kati awo nebweba ndirukululidde ku kaliba tewandibaddewo asulira nsiingo naye nnyabo kino kikweeno kyennyini