Mbalamusiza nnyo abalungi banange mwena.Akasaana kabayiisa katya mwena gyemuli eyo?Nafe tuli eno kookya nga bwe tuweleeza egya baandi.Olwaleero nange nesowoddeyo mbeko nekyenjogera ku nsonga y'okutuyiita abakubi be "Kyeeyo".Ensonga eno etuute ebanga nga ensuza bubi nnyo.
Ate nga bw'otunuliira abatuyita ba kyeeyo people bayimiliddewo ku lwaffe.Kwegamba "fe tukuuba ekyeyo netubawereeza bu sente babeeko kebatuterawo eka, gamba nga ennyumba" Kiki kyebakoola?Kutandiika kwekyangira ku ntuyo zaffe.Eyali asibira empale mu kiwato nga olwo agisibila mu kifuba,anti brother we oba sister awe akanamba aweleeza.Natelabira ntuyo za mugandawe ali ku diaspora nga nokulangira kwatadde."Abo bali ku kyeeyo".
Kakanti nze nali ndowooza at least batuyite ABASENZE kuba abasinga twasenga ku diaspora naye eKyadondo ye waffe.Oba batuyite ba ZINUNULA, anti ffe tubanunula nga bali ku kisenge.
