CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Farewell Dr Kiggundu , May your Soul rest in Peace (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Farewell Dr Kiggundu , May your Soul rest in Peace
#9589
Balyokwabwe (User)
Senior Forum Member
Posts: 231
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Farewell Dr Kiggundu , May your Soul rest in Peace 4 Months, 4 Weeks ago  
Namwandu asomye obubaka obukambwe Dr. Kiggundu bwe yamulekera



Abavubuka nga bang’oola Polof. Nsibambi ku mukolo gw’okusabira Kiggundu.



Bya Richard Kayiira



DR. Sulaiman Kiggundu yalekedde nnamwandu obubaka obukambwe ku baggala bbanka ya Greenland.



Mu kusabira omwoyo gw’omugenzi e Kibuli, Mayi Kiggundu, yaggyeeyo akatabo akasabikiddwa mu ddiba erya kiragala ke yagambye nti Kiggundu ye yakamuwa ng’alaba obulwadde bumugonzezza nga kakwata ku kubuuliriza n’ebyazuulibwa ku kyaggaza bbanka ya Greenland eyatandikibwawo Kiggundu ne banne.



Nga bw’alaga abakungubazi akatabo kano, Mayi yagambye nti omugenzi yamugamba ayogere ebigambo bino mu kumukungubagira: Bantu ki bano abatayagaliza Buganda? Bantu ki bano aboonoona amannya ga bannaabwe awatali musango?



Bantu ki bano abezza obugagga bwa bannaabwe? Bantu ki bano abatalumirirwa byanfuna bya ggwanga?”



Yagasseeko nti Kiggundu atuuse kufa ng’eggwanga teritegeeranga kyaggazaawo bbanka y’obwannannyini eya Greenland, kyokka n’agamba nti bwino yenna ali mu katabo bba ke yamulekedde.



Mukyalamukulu Remy Kiggundu amaze emyezi ebiri ng’ajjanjaba bba mu Gordon Donald Hospital e Johannesburg mu South Afrika ye yayogedde ku bulwadde obwasse bba bwe yagambye nti: Nga baze tannafa, Dr. Belington abadde amujjanjaba yamwekebezze n’agamba nti kookolo atuuse ku mawuggwe wabula ekyewuunyisa, ekika kya kkookoolo ono tekitegeerekeka!



Remy yannyonnyodde nti wadde bba baali baamuzuula nti alina kookolo w’omu byenda, wabula abasawo baamugambye nti obubonero bwa Kiggundu bwabadde bwanjawulo nnyo ku bw’abalwadde abalala abalina kookolo ow’ekika kino.



Besigye naye bwe yatuuse okwogera n’ayongera okukkaatiriza nti, “Wadde mwenna mugamba nti mukwano gwaffe ono yafudde kookolo, nze nzikiriza nti okuwamba ebintu bye n’okumusiba byakosa nnyo obulamu bwe.”



Yasuubizza nti bw’anaatuuka mu buyinza waakulongoosa ebyo byonna ebisobye ku gavumenti eno naddala mu byenfuna.



Sheikh Obed Kamulegeya yagambye nti gavumenti bw’etazze bintu bye yabowa ku Kiggundu, ajja kulomba edduwa bikomezebwewo.



Yagambye nti, “Aba NRM beefuulira Kiggundu ne bamulyazaamanya. Yabayamba nnyo mu lutalo lw’ekiyeekera, tebandimusasudde bwe bati. Aba NRM abali wano mugambe bakama bammwe bakomye obulyazamaanyi.”



Yasabye gavumenti ennyonnyole abaalina emigabo mu Greenland ekyaggaza bbanka, ebasasule n’obukadde bwa ddoola 11 Kiggundu bwe yasasula okugula UCB.



Twaaha Kaawaase eyasomye obubaka bw’abaakolerako mu Greenland yaweze nti, “Olunaku lujja kukya nga tuzzizzaawo Greenland. Bwe tutaabeere ffe, bajja kubeera batabani baffe oba abazzukulu baffe. Bwino tavunda, ate n’obukodyo bwe yakozesanga (Kiggundu) twabumuyigako.”



Mu balala abaayogedde mwabaddemu Katikkiro wa Buganda J.B Walusimbi eyeetisse obubaka bwa Kabaka; mulekwa Sula Kiggundu Junior, Omulangira Kassim Nakibinge n’omumyuka wa Gavana wa Bbanka enkulu Opio Okello.



Abakungubazi baakedde Kololo mu maka ga Kiggundu ne bawerekera omulambo okugutwala ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi bannabyabufuzi abawerako gye baabadde bakung’anidde.



Abantu bazze ku nguudo okulaba omulambo gwa Kiggundu mu bitundu by’e Katwe, Kibuye ne ku Ssaawa ya Kkwiini. Oluvannyuma baamusaalidde era ne boolekera Ntolomwe gye baamuziise eggulo.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement