CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Obulamu bwawano
#2574
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1806
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obulamu bwawano 11 Months, 2 Weeks ago  
Naye Bugonzi lwaaki osokera wali bilaka kubyonna Luutu byakugambye era ssebo gwe ssegwanga gyabaddeyesabika josokeddeko okulaba ate nomuterako ne side dishes bu winngs 6 entwingiri 12, amagi 6 saako nelita 2 eyekyanzi kyamata kati bwamala okubwegera nalyooka atendereza Nabakyaala . ssebo nno abo bebamu abavulunga nakati otwononera ensi yaffe kuba ebyo byonna bitebereze ngabiri ka ngogaseeko neka weather, nemikwaano, nenganda, buli wokuba amaaso ate olaba ogenda mukyaalo ngabasse ente ngeriyo emikolo silowooza nti waliwo nsi esinga ka, gwe gerageranya ngebintu bilungi eka, ku mikolo nga kwanjula, busiki, nyimbe, mbaga, oba ebivulu ebitali bimu oyinza obigeragelanya nebikolebwa ebweeru?
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#2580
luutu26 (User)
Expert Forum Member
Posts: 483
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male KAZIBWE2 www.celebafrica.net
Re:Obulamu bwawano 11 Months, 2 Weeks ago  
Omumbejja ndaba kuki naye munange nange ngamba nti obulamu bweka bulungi naye njagala tube bamazima omuntu nga omanyide wano tosobola kudaka nomalayo mwezi esatu nga toyoya kuda wanno. Omumbejja osobola eka okutta ente namba nogabira nobo kukyalo buli omu nalya naye ekyo okikola lumu naye wanno ebintu ebyokulya obigula mubungi kubeyi entono nga ate bigenda kitono kati tunulira omwenge gwa wanno ekisinga okusala kubantu kola natye okutamira nagwo ogula mubungi noteka awo ayagala yanywa. Ebyo budde okunyogoga nomuzira nze mbira luvanyuma kasita mba nga nfunye ekida eli ekyenda kati tunulira bana uganda abagwera mu IRAQ eyo embera oyinza ogigerageranya nobunyogovu.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#2594
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1403
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obulamu bwawano 11 Months, 2 Weeks ago  
Obulamu bwawano bwagala bavubuka. Ebizibu byaawo tukyabigumira kati kubanga tukyali ba maanyi. Naye nze nnakimanya dda nti Mukama nampa obulamu wano sagala kukaddiyirawo. Olabika bulala, nga azunga obuzunzi mummakubo. Emmeere yenyini oba okyalya yenkana wa? Yye nemmere nyingi kale naye ebikolebwa eryoke ebeere nyingi nga bingi!! Ate nemmere telina kawoowo, amata nebwogafumba tewali njawulo nafumba amazzi. Ate ogenda okula nga ebwoomu buyitirira. Abantu abakulu wano bavaawo nga abagenda okuwummula tebadda. Waliwo nomu eyalina ne passport yawano, nagenda eka nalwaala, nebamugamba ddaayo ojjanjabibwe, nagaana, era nasalawo okufiira eka, era bwekyaali. Eka omuntu oweebwa ekitiibwa kyo ekikujaamu, naawe obako kyoteseeza society yo okusinga okutunula obutunuzi nga abalala bebateesa ebikwata ku bulamu bwo, kwo ekyo wano neeka tewali njawulo.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#2601
JBugonzi (User)
Junior Forum Member
Posts: 119
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obulamu bwawano 11 Months, 2 Weeks ago  
okusinziira ku baantu aba respondinze ku topic enno,85% are againist it just because,as much as there is some possitivity,but the negativity out wieght,Ssente tetugaanye zzo weziri,naye sente tezimara buli kizibu.

Enkoko olya,ebyaanzi byamatta nnoonywa,naye essanyu nga tewali,nebwooba olinna empapula,oba tolina.

okugezze nze Omwaana wange amala week nga ali munju,lwolinna appointment nga oyagala okumulekela omuntu,olinya bus nga mukaaga(6)okutuuka ewali omumanye. naye ewaffe,omulilanno guba nga luganda,no HUSSLES.

Ekirara ewaffe otuma omwaana kukaduuka ka guundi,aleete sukari nga tomuadde atta luba,naamuleeta. NAYE WANNO,OBEERA NE £9.99 nga nga bill yamassanyalazze ya £10,bawandiika ebbaluwa ezibanja oluusi nebasinddika nomubaka okujja okubanja,you end up in court.

LUUTU SEBBO,NGA OJJEEKO ENFUUFU YE LUNGUJJA NE NSIRI,MPOZZI NE MUSEVENI,HOME IS THE BEST.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#2610
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 797
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obulamu bwawano 11 Months, 2 Weeks ago  
Wabula bana-U mumanyi okutessa.Buli kintu kiliko ekilungi kyakyo nekibi kyakyo ate ela one mans meat can be another ones poison.Luutu ssebo nkwaggade kwogela mazima nga omuseezi agula esowani.Bwobuza omwana akulidde wanno naye nga yali agenzeko eka nti wa waweyandiyagadde okubela akudamu ntiwanno.Atela nebwaba mukulu akulilide naye nga yazalibwa wanno ela naye tomunyumiza bya kudda kka.Naye bwegutuka kuffe banagya bwenti bwenti...East,West..Home is best.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#2635
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1403
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obulamu bwawano 11 Months, 2 Weeks ago  
Kisinziira ku mwana, ku family, ku mirundi emeka gyagenzeko eka, ku biki ebimugambibwa ebikwata ku ka, ne ngeri gyakuzibwamu. Wano okiraba bulungi kino, abaana abazalibwa kuno nga bava mu boolo abatalaba Walukagga, tebagala kudda ka, bawulira bazadde baabwe byebogeera. Wano sogeera ku boolo batalina ssente, ngamba abanaku mu myooyo. Toyinza kwagala nsi yo, nebakuwa mwana muto, atnulidde era alinda okuyiga buli kimu okuva ku ggwe, nakulema kugimwagazisa, oba teogezezzako oba nga toyagala. Ebyokulimba bidda wali. Waliwo ate abaana nze bemmanyi, abatayagaliira ddala kuno. Omulenzi omu eyazalibwa kuno nakulilako yaddayo eka najja okukyaala nangamba, naye mba tya, muli bakazi, eehee, obulamu olwo nga bwaaki? Nze kuno siyinza kubeerako!!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement