|
MUKAMA BWATAKUUMA KIBUGA ABAKUUMA BAKUMIRA BWEREERE
Omuliro mu Kampala
Bya Semei Wessaali ne ibrahim kisuule
Amasundiro g’amafuta,omugotteko gw’emmotoka n’obutamanya bw’abantu bigenda kwokya ekibuga OMAZE bbanga ki ng’okolerera emmotoka yo eyo ennungi, ennyumba yo oba bizinensi yo etandise okukuwa essanyu n’okukuliisa ku birungi? Obadde okimanyi nti y’egenda okuddako okuggya omuliro?
Wali okirowoozezzaako nti takisi eyo gy’olinnye olwaleero oyinza obutagivaamu, ng’eyidde omuliro naawe n’ogenderamu? Omuliro ogwasse abaana 20 aba Budo Junior wiiki ewedde tegukuli wala.
Era ekibuga Kampala kyonna nakyo kyangu okwaka ne kisirikka. Amasundiro g’amafuta, obulippagano bw’emmotoka, omugotteko gw’amayumba n’obulagajjavu bw’abantu byonna lumu bijja kwegatta bitukole ogwa walugali.
Amasundiro g’amafuta gasaasaanye wonna mu Kampala. Ku luguudo lwa Kampala Road, kuliko mukaaga, Johnston limu, Market Street, limu, Ben Kiwanuka nga tannaba kwegatta ku William, kuliko asatu.
Ku lwa Namirembe, limu, Kyaggwe kuliko abiri, William nga tannayunga ku Bombo, kuliko abiri, William, abiri ne Nakivubo Channel kuliko limu. Omugatte, mu kibuga wakati waliwo amasundiro 20 nga tobaze nguudo nga Namuwongo n’ekibangirizi ky’amakolero eri ddipo.
Ku bbomu y’amasundiro gano erinda okutegulwa, gattako eky’ebizimbe ebisituddwa mu Kampala nga temuli yadde akuuma akataakiriza ku muliro ssaako n’ekibuga ekitali ku ppulaani kuba we twogerera ng’emidumu omwandiyise amazzi ssinga wabaawo akabenje gyazibikira dda.
Mu mbeera ey’obwerende bw’eti, wandisuubidde nti Poliisi eri bulindaala era erindirira ffirimbi yokka okujja okutaasa. Guno nno si bwe guli, poliisi yazinga dda emikono ku nsonga eno era erindirira kimu abantu bamale okufa, eyoole evvu, etandike okubuuliriza!.
Mw. Lawrence Adima , akulira ekitongole kya Poliisi ekivunaanyizibwa ku muliro agamba nti ebbula ly’ensimbi eribalemesezza okugula ebyetaagisa, lye libafaananya ng’abatalumirirwa naye nga bakwatibwako kyenkanyi; Ku kitebe, tulinawo ebimotoka ebizikiza omuliro bisatu byokka, eby’amazzi bibiri, tetulina bimotoka bizikiza muliro mu bizimbe ebiwanvu.
Ekyaliwo kyakoma okukola mu 1983 kati kyafa dda. Mu kiseera kino, ku disitulikiti 81 ze tulina, mukaaga zokka ze zirina ekimotoka ekiyambako. Mu zino mulimu; Jinja, Mbale, Masaka, Tororo, Mbarara ne Hoima.
Ate na bino bireme kubeeyibaaza kuba ebiseera ebisinga temuba mafuta. Eyo y’embeera ya Poliisi. Olwo omuntu kiki ekinaamutaasa? Amakubo gali abiri.
Erisooka lya yinsuwalensi ate eddala lya Fire Masters. Mw. Peter Johnson, akulira ekitongole ky’obwannyini ekya Fire Masters ekisangibwa e Kibuli ye, mwetegefu okukuyamba naye olina kuba ng’akasimbi okaweza; Tusobola okukola emirimu egya buli kika naye olina kusooka waffe ne tukumanya era ne tukulambula n’osasula olwo ne tulinda ekiddako.
Tulina ebimotoka ebisobola okuzingako ekibuga kyonna era mu, Chogm batweyambisa nnyo anti buli kkubo twalissaako ekimotoka. Obuzibu obuli mu Kampala nti emikutu omuyita amazzi gyazibikira dda era n’ebizimbe bwe bityo ate ebimu tekuli ddala.
Twagenda okuzikiza omuliro ku Garden City twagenda okutuuka nga emidumu gyonna gyakala dda”. Peter Johnson bw’annyonnyola. Agamba nti ku nsonga y’obulippagano nayo baagisalira dda amagezi kuba, kasitooma bw’ajja, basooka ne balambula amaka ge oba ekifo w’akolera.
Abakenje bwe kagwa, basindika emmotoka ssatu omulundu gumu nga ziyita mu makubo ag’enjawulo okwewala obulippagano.
Annyonnyola nti balina n’obuuma ssaako obuwunga bwe basobola okuguza amasomero okusobola okuyambako. Kyokka obuzibu babusanze mu tteeka. Mu kiseera kino tebalina lukusa lubakkiriza kumala gatabaala n’okumenya ebizimbe by’abantu ssaako n’okuziba ekkubo nga bazikiriza omuliro.
Olukusa poliisi y’erulina kyokka ebikola tebirina! Enkola endala yandibadde ya Yinsuwa, eyinza okutaasa ng’abakenje kagudde. Naye abantu yo bagitegeera? Ate amakulu gaayo bagamanyi?
Baabano boogera; Stephen Makumbi wa bodaboda mu Kiyembe; Aba Yinsuwa bye boogera ate ssi bye bakola. Pikipiki bw’efuna obuzibu n’ogendayo bakutambuza myezi nga tebannakusasula.
Swahaba Tamale atunda sipeeya aba Yinsuwa abalumiriza kukandaaliriza. Hajjat Mariam Nakku musuubuzi mu Avemar; Ssente ze tukozesa ziba nneewole era okuggyako emisoso gyonna ng’eza Yinsuwa tokyaziraba ekivaamu kubivaako n’olinda kijja. Ate bw’osasula okwerinda okubbibwa, emmotoka bw’ekwata omuliro tebakusasula.
Badir Kimera dereeva wa loole ku GoodShade e Nakasero amanyi omugaso gwayo era agyagaliza buli muntu ali mu bizinensi. Kyokka bannayinsuwa batangaaza nti obutamanya nkola ya zi yinsuwa kye kitawaanya abantu.
Josephine Zhane Omunyidde amyuka akulira kampuni ya National Insurance Corporation Limited, annyonnyola nti; omuntu asobola okusasulira okuva ku bulamu bwe oba obw’abantu be, ebyobugagga naye nga tusinziira ku muwendo gwa kiki kyatukwasa era asobola okusasula mu kibanja mpola.
Omuliro bwe gukwata enyumba ,edduuka, emmotoka,oba eby’amaguzi ebirala tubisasula byonna. Okutwegattako tusooka kulambula w’okolera ne tukuwa amagezi ku ki ky’olina okukola.
Kyokka ssinga tuzuula ng’ebintu bye twamugaana bye bivuddeko omuliro tetumusasula. Abantu abalina ennyumba z’essubi n’abazimba wansi wa waya z’amasannyalaze tetubasasula.
Mw. Dennis Etonu owa Nici Insurance Limited agamba nti mu Uganda abasinga okwettanira Yinsuwa beebasomyeko, Yagambye nti ebintu omuli obutale obutunda eby’okulya gamba nga Nakasero, Owino, Bugoloobi n’obulala tebabutunulamu.Noolwekyo weerinze otya embeera eno?
Published on: Wednesday, 23rd April, 2008
|