robster wrote:
QUOTE:
HHHHHHHHHH Tonto bwoba nga okiriliza mu ddini mwenzikiliriza njagala obulire bino,mukulowoozakwo abawandiika baibuli lwaki batulaga nga emisingi gyabantu kwetwesigamiza okukiliza kwafe balina abakazi abasuka mwomu? okujako nga omutonzi naye yakiliza enkyukakyuka! ibrahim, nekassekabaka bonna abali mu ndagano enkadde ndayo eyalina omukyala omu!!!!
mpozi yozefu naye gendako nemumpya olabe! awo wenkubuliza bwoba wesigama kumutonzi mba sikutegedde, nga nvedde kwebyo era omutonzi yomu yatonda naye lwaki atondanyo ekika kyabantu ekimu( ABAKYALA) nebasinga kubami nakyo kinonyereze olabe.
naye neyanziza ekwatayo eyebintu.
Abakyala okulabika nga bangi okusinga abasajja ndowooza kiri kityo olwokuba abasajja bebasinga okufa okusinga abakyala, mu accidents, mu ntalo, era nemubulamu obwabulijjo. Bwogendako mu bakadde jebabakuumira, ojja kusanga nga abasinga obungi (9 ku 10) bakazi.
Mu Bible tosangamu verse, ekugamba nti wasa abakazi abasukka mwomu, okujjako nga gwobadde naye amaze kufa. In fact, bwofuna omukazi naddala nga mwembi muli bakristayo, omukazi oyo aba akumalira buli kimu obutajulira, era aba akkukkiririzaamu mubuli kyomugamba. (Soma Genesis 31:4-17).
Abantu abali mu Bible tewali njawulo nawe oba nange. Ffenna ffe bamu. Bible egamba nti "tewali mulongofu". Ffenna tusobya. Enjawuli eriwo eri nti abantu ba Christ bwebasobya, Jesus abasonyiwa. Abatali ba Christ bwebasobya, ebibi byebasobya bibetuumako. Tebafuna kusonyiyibwa, kuba ekyo tebakikkiriza nti kisoboka. Kyebava tebakkiriza Jesus Christ.
Omuntu bwamenya enju nabbamu ebintu, ekyo tekitegeeza nti okubba ssi bumenyi bwamateeka. Oba bwotta omuntu tekitegeeza nti obutemu ssi bumenyi bwamateeka. Mungeri yeemu, eriyo abatakkiriza nti Katonda jaali, nti ne Jesus Christ omwana we, yatusonyiwa ebibi. Naye obutakiriza bwabwe tekijjaawo Katonda ne Jesus Christ kubeerawo.
Abantu abali mu Bible olwokuwasa abakazi abasukka mwomu tekijjaawo tteeka lya Katonda lyakuwasa mukazi omu.
Bwomenya amateeka ga Katonda ofuna ekizibu. Lwali lumu Bathsheba muka Uriah yali anaaba ng'ali buswa, Kabaka David namulengera, era namwegomba. Yamutumya era neyebaka naye. Ebyaddirira bisome mu 2 Samuel 11:2-27
Ate obuzibu Kabaka David bweyafuna olwokwagala muk'omusajja, n'okutta Uriah bba wa Bathsheba, busome mu 2 Samuel 12:1-19
Bible etulaga abantu mu "real life", engeri jetweyisaamu. Bible eraga ekyokulabirako mu bantu nga ffe fenyini. Ate Bible netulaga nti bwetusobya netwenenya, Jesus Christ waali okutusonyiwa ffe abakkiriza.
Nolwekyo tugobere ebirungi abantu abali mu Bible byebaakola, era tuleke ensobi zebaakola. Oyinza okusoma story ya Jonah ekyenyanja gwekyamira olwokujemera Katonda nga amutumye e Nineveh. Era ojja kulaba nga bweyenenya, Katonda yamusomuwa amangu ago, ekyenyanja nekimusesema kulukalu (Jonah chapters 1 ne 2).
Abraham teyawasa bakazi basukka mu omu. Yalina omukazi omu yekka Sarai (Sarah). Bafumbiriganwa nga Abraham alina emyaka 40, ate Sarai yalina 25. Abantu bano batulaga ekifananyi ekituufu abafumbo nga bwebandibadde. Tekitegeeza nti Ibrahim teyasobya. Ffena tusobya. Bwe baweza emyaka 90 (Abraham) ne Sarah 75 nebalyooka bafuna omwana wabwe omubereberye - Isaac. Ekyo kitulaga okwagalana nga bwekuwangula ebizibu byonna, omuli n'obutazaala. (Wabula Abrahim yafuna Ishmael - naye eyo nayo story ndala). Kunkomerero yabyonna, bulijjo Katonda teyerabira bantube.