AMASOMERO AGASINGA OBUNGI AGAYIDDE OMULIRO GALI MU BUGANDA.
Amasomero 3 gayidde
Ekisulo kya Namalere Girls ekyakutte omuliro.
Bya Henry Ssennyondo ne Sarah Zawedde
AMASOMERO okukwata omuliro kutaamye! Ebi-sulo by’amasomero asatu ag’enjawulo byakutte omuliro ebintu bya bukadde ne bitokomoka.
Ekisulo ky’essomero ly’Abasiraamu erya Buziga Islamic Theological Institute e Makindye kyakutte omuliro, emifaliso, kkeesi, ebitabo, bbulangiti, amasuuka, ebitanda, engoye ne kalonda omulala byonna ne biggya.
Ekisulo ekyayidde, mubadde musulamu abayizi 67 aba P6 ne P7 abawala ng’era temuli kintu na kimu kyataasiddwa okusinziira ku Yusuf Jjemba omu ku bakulira essomero.
Abayizi Abunyo ne Shamim be baasoose okulaba omuliro guno ne bayita abasomesa.
Ate essomero lya Namalere Girls mu ggombolola y’e Nangabo lizzeemu okukwata omuliro, ebintu ebibadde mu kisulo kya Cambridge ne bisaanawo. Omuliro gwakutte ku Ssande olweggulo.
Omuyizi, Joseline Nabiyonga eyabadde yeebase mu kisulo kino agamba nti, ‘nnawulidde ekintu ekibwatuka omulundi gumu ekyazzeeko kulaba nnimi za muliro ne nziruka’.
Wiiki ewedde essomero lino erya kalina lyakwata omuliro, ebisulo bisatu omwali (Nkozi, IUIU ne Havard) ne biggya.
Mu kabuga k’e Kinoni ku luguudo lw’e Mbarara, ekisulo ky’essomero lya Sydney Day & Boarding kyakutte omuliro emisa-na emifaliso n’amakeesi g’abayizi basatu: Marble Nassaazi, Zahara Tendo ne Gift Mulungi ne gaggya okusinziira ku amyuka omukulu w’essomero, George Kateregga.
Published on: Monday, 16th June, 2008
And now, who is next?
Now we know who is behind these fires and infernos.