Engeri Bannayuganda gye basiba aba South Afrika ekiwaani ne bayoola ssente
Bya Margaret Ziribaggwa
EMBEERA bw’ekalubye ne bannayuganda ne batandika okuyiiya okubaawo kyokka ebimu bye bakola bya kimenyi ky’amateeka. Tunuulira bano abeefuula abasawo b’ekinnansi ne bayoola omusimbi mu South Afrika.
Omu ku Bannayuganda abamaze emyaka esatu mu South Afrika nga yavuddeyo mwezi guwedde agamba nti yava kuno nga munne omu amutegeezezza nga e South Afrika emirimu bwe gyali emingi.
Olw’okuba yali talina mulimu, yakung’aanya ssente ezaamutambuza nga baayitira Tanzania, Zambia, Zimbabwe ne batuuka e South Afrika. Baagenda n’ekisawo ekinene kyokka ye nga tamanyi munne bye yali ataddemu. E Capetown gye baasanga Bannayuganda abaali bamanyi munne bwe baali.
Yasooka kwebuuza emirimu gye baali bamugamba nti ajja kugisobola. Oluvannyuma yakizuula nti baali bategeeza nti alina eddoboozi ettuufu erisobola okukola omulimu gwabwe.
Enkeera munne yasumulula ekisawo n’amutegeeza nga bwe baali bagenda okutandika okugaba eddagala era n’amukakasa nga bw’atalina mulimu gwasobola kukola mulala okuggyako okwefuula omusawo w’ekinnansi agaba eddagala.
Yasooka kutya kubanga kye yali amugamba yali takikolangako. Oluvannyuma munne yamugumya nti omulimu gwali mwangu.
Olw’okuba yali talina nsimbi kudda Uganda mu kiseera ekyo, yasalawo okugondera eyamutwala. Yamulaga engeri gye baali bagenda okukozesaamu eddagala lyabwe eryali essekule.
Olw’eddooboozi eddene lye yalina, munne yamuwa obuvunaanyizibwa bw’okuba jjajja. Yamutegeeza nti obulwadde obwali businga okutawaanya bantu bwali kubulwa maanyi ga kisajja. Yamulaga obusuwa bwe yali atadde ku mmeeza n’amugamba nti baakola waya eriko mmota nga bwe bassaako swiiki yeetooloola obusuwa ne bukoonagana. Yamutegeeza nti obusuwa nga bukoonaganye buvaamu eddoboozi olwo azze okumusawula n’alowooza nti bajjajja be batuuse.
Yamutegeeza nti ajja kubeera nga yeekwese mu kibookisi ng’omuntu bw’ajja okumulagula awuluguma n’okwogera ebigambo by’aba ayagadde mu ngeri etiisa.
Yamugamba nti bwe bafuna omuntu ayagala okumwambula ajja kusookanga kugenda mu kifo gye babeera basazeewo nga yeebisse ebisanja bye baggyanga e Uganda. Yamutegeeza nti bwe batuuka mu kifo kinoekiri okumpi n’ennyanja yali ajja kuggyayo omutwe agunyeenye olumala yeemulule omuntu gwe baba batutte olwo bamusabe ssente okusinziira ku ngeri gy’alabikamu.
Agamba nti abantu abagendangoyo okubasawula yabawanga ddagala omuli omwetango, omululuza, ekigagi, katunkuma omusekkule n’ebirala.
AMAGEZI LUWOMBO