CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Obukodyo!
#9829
prettyd (User)
Junior Forum Member
Posts: 82
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Obukodyo! 4 Months, 1 Week ago  
Munno mufunire erinnya ericamula





MBALAMUSIZZA bawala ne batabani bange. Leero njagala tutunuulire amannya ge muyita bannammwe abo abababugumya nga muli eyo mu kitanda. Owuwo omuyita otya? Omuyita ‘maama Naaki’ ng’abalala awaka bwe bamuyita?



Mmanyi abamu ku mmwe temufaayo ku mannya ge muyita baagalwa bammwe bano naddala nga muli eyo ku kisenge babagabira amasaza. Wabula bw’otofaayo kumuyita linnya erinaamucamula ne by’okola tebijja kumunyumira. Ggwe ng’omusajja oteekwa okugunjaawo erinnya erimumanyisa nti ye ggwe amuleetera ebisulo mu bisambi.



Waliwo amannya ge muyita abaagalwa bammwe ne gabamalako ne laavu, era we batuukira mu kisenge nga buli kimu bakikola kutuusa mukolo. Ekibi nti abasinga ensonga za laavu temuzitwala ng’ekikulu, kye mukuliriza kimu kya kwegatta.



Munno oyinza okumuyita Namboozi, amakulu nti y’akuwa emboozo y’omu buliri ekunyumira, era buli lw’awulira ng’ebisulo bimusala mu bisambi ng’acamuka. Olwo lwaki taakubeerere munyuvu mu kisenge? Oba osobola okumuyita Kasonsomolera ng’omugeraageranya ku liggwa ly’ettovu. Oyinza okumuyita okusinziira ku bitundu by’omubiri gwe gamba nga Maasombira, bulawuni, kabinandoddo oba sigiri, okulaga nti alina ebbugumu ly’oyagala mu buliri.



Kye mulina okumanya nti omukwano gwetaaga okuwaana era buli lwe kutabeerawo ebintu tebitambula bulungi.



Buli lw’omuwa erinnya erimwawula ku bantu abalala kimulaga nti omwagalira ddala era buli w’omutuukirako abeera ayidde.





Published on: Wednesday, 16th July, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9837
kapakiti (User)
Baby Forum Member
Posts: 25
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obukodyo! 4 Months, 1 Week ago  
Owange bulijjo nkimanyi nti oli muka bwoti? Ownge mweyitira kawoomera.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9839
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 939
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obukodyo! 4 Months ago  
Naye PrettyD gwe nga tewatubulidde owuwo lyewamuwa?Nze owange mweyitila Fumitabadagge ku weekends ate munaku ezitali weekend mweyitila Kisóbusungu.Yadde nga olusi ntela okugatabula okusinzila ku mbela yobudde.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#9843
prettyd (User)
Junior Forum Member
Posts: 82
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obukodyo! 4 Months ago  
jj owuwo eryo erya weekend lyo'muyita nga lizibu okwatula!hahaha kituufu wamma gakubuzebuze!lol

owange muyita katikkiro,ssaabaagazi,nanyini mukwano anti gusibuka mu ye ne gumbuna!nkugambye nina mangi naye kambagambeko ago!
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9845
garvin (User)
Baby Forum Member
Posts: 30
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obukodyo! 4 Months ago  
nze owange muyita bulamu bwange. anti yampa amaanyi go'olunaku. naye nga go amanya ag'andimu manji genyinza okumuyita.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9968
prettyd (User)
Junior Forum Member
Posts: 82
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obukodyo! 4 Months ago  
MBALAMUSIZZA bawala ne batabani bange. Mbaagala nnyo naddala mmwe abafaayo okunyweza amaka gammwe. Wabula bawala bange bangi abakola ensobi gye njagala mugolole.



Bawala bange bangi muyingira obufumbo n’ekigendererwa ky’okukyusa embeera z’abaami bammwe. Omusajja bw’afuna omukazi n’asalawo okumuwasa abeera asaba kimu, aleme kukyuka ng’atuuse mu maka.



Ekyewuunyisa nti ate bawala bange bangi abafuna abasajja ne babala nga tebakwatagana bulungi, wabula ne bagenda mu maaso ne babafumbirwa nga balowooza nti bwe banaatuuka mu bufumbo bajja kusobola okubakyusa basobole okufaana nga bo bwe baba baagala.



Naye njagala okubagamba mmwe abawala nti mu kifo ky’okumala obudde ng’okyusa omusajja weemalire mu kulongoosa amaka go.



Abafumbo abo b’olaba bajaguza emyaka 25 oba 50, amagezi gaabwe, ensimbi n’ebiseera ebisinga babiteeka ku kutereeza maka gaabwe.



Mu mbeera efaanana bw’eti amaka gakulaakulana, geegombesa era geeyagaza okubeeramu. Buli lw’otunuulira ebintu byo ebirungi by’okoze mu maka n’ensimbi ssaako obudde bw’omaze okukolerera ebintu ebyo kikubeerera kizibu okuseetula ekigere okugavaamu, era omuyaga ne bwe gujja nga gukunta, osobola okuguma n’okwenyweeza wekka awatali muntu mulala kukuyamba.



N’omusajja agenda okulaba nga byonna by’okola toseguka n’akomawo awaka ne yeetereeza. Kino tekitegeeza kuggya birowoozo ku baami bammwe, wabula mukomye okulowooleza mu kubakyusa.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement