|
Nze eka wankooya nnyo nga nakatuuka!! Mu nnaku ezisooka, nga ssinakyuusa byemmanyidde, buli kimu nga kindabikira bulala, naye bwendwaayo nga kimbereera kizibu okudda. Naye nze ekisinga okunsiba kuno kubanga kwekuli emirimu gyange. Ebikolebwa eka, sibimanyi bulungi!! Ate abakutte enkulungo, balabika basasulwa kulemesa. Nze bwennagezako okutandika yo business nga ebintu babizibuwaza ekyekisiru, ekintu ekyandimaze eddaakiika ettaano nokitambulirako omwezi mulamba ate oluusi nobutakifuna. Ne mubyo kukola obubbibbi bungi, tewali gwewesiga. That kind of lack of trust is hellish!!!! Naye nze ebyo ebye mmeere tebinuma, naye mpozzi enjawulo yaffe eri bweti Luutu, nze najja kuno nga ndi muwala muto, najja kusoma. Nyinza okuba nga mind yange yali locked into how things were, era nga bwentyo bwendifa. Okubonabona kweeka nkutegeera naye nze mmanyi yo nekirala, tewali nsi eteribonabona. Ebizibu tebinzija ku mukwano. Olunaku lumu ngenda kusiba ebyange nzire eri muganzi wange Buganda, and come what may.
|