CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Obulamu bwawano
#2658
xaza (User)
Junior Forum Member
Posts: 132
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obulamu bwawano 11 Months, 3 Weeks ago  
Wano mmanyiiwo abaana bannaU abaazalibwa wano, era nebakulira wano. Kyokka bwebaatuuka eyo mu myaka nga 18 nebagendako eka emirundi ng'ebiri, baasalawo nti bagala kusengukira ka. Baagamba mbu baanyumirwa nnyo eka, era mbu eriyo feeling etali wano.



Wabula ng'onoddayo eka, olina kusenguka mubiwagu. Sooka ogende omaleyo akabanga, okomewo, ate oddeyo, okomewo, ate oddewo emirundi egiwera. Ekyo kikuyamba okuyiga abantu b'eka n'entambuza ya business. Oluvanyuma olyooke osibe engugu.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#2670
Kalibattanya (User)
Expert Forum Member
Posts: 606
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obulamu bwawano 11 Months, 3 Weeks ago  
Obulamu bweeno, kukola, kuweeweza bulumi ka, kusaba Mukama atereze ensi yaffe, tuddeyo tugiteseze nga tuli ku butaka nga bwetukola wano. Naye nga wali tulabagana ko ne mu mmunye. Nakuyiga ebinatuyamba nga tuzzeyo. Awo ne Mukama wanawulira okusaba kwaffe, natusaasira. Amiina.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Love Conquers All
  The administrator has disabled public write access.
#5289
Bikolwa (User)
Junior Forum Member
Posts: 94
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obulamu bwawano 9 Months, 3 Weeks ago  
Ahaaaa, owange okubeera eno kukyira e Kyaddondo??



Banange empewo yobutiti entamizza okubeera e Bungereza! Omuntu nova mu nju yo nga obudde bukyakutte, nogiyingira nga buzibye olwonolubala nti lumu... Nate bwotyo kumala myezi oba kati emmeka? Anti kigambo global warming nakyo kifuse ensonga. Nobunyonyi bulemeredwa okumanya oba bubuuke bugye eyo oba bugira bulindako. Bambi no nebusoberwa - kuba anti ne senyiga naye kati abwezingirideko. Tuyinze okuwankankula endwadde ze'bisolo, nantikyi ono senyiga wa binyonyi, simanya ate kabotongo wabigere na'mimwa! Endwadde wezikoma abaana baffe abaato nabavuubuka webatandiikira okwekolako obulabe nga abamu batingana mu ngeri eyobutemu. Kale no awo omuzimu gwa stress wegufunira omwaganyi negutwepatikako negutufikira akakobe nagwo. Anti buli ka ssente kajja kapimidwa kyekangendako...gatako nakatanajja kolina obubeezi nako mubwongo



Ebyo kwambala obulungi mu kiseera kinno obiteeka kumabali newezingirira mu makutiya ga makoti agakufukira ekyoto ate nga otuuse mu bus oba train notandiika okweserera omwo. Enno yemu kubintu banaffe e Kyaddondo kyebatulabirako. Mpulidde banji abangambye nti muvabulaya omulengerera ku busiwufu empewo bwemutunuza mu maaso awamu nenggalo! Naye ndowooza muvabulaya we Europe??? Mbuuza abobumerika - mwe eyo namwe empewo bwetyo bwebayisa/batunuza ama??? Wabula kenaliko mu Australia namatira nti kaliduggala naye yetaaga sunscreen!



Tekakutanda novuga nga ebipapulabyo sibiteerevu, banno balabiika cameras bazitadde mubuli kafo; nti oluusi mbamu nekilowoozo nti epulire lya "Sun" lyandibamu ne shares okulondola abamenyi bamateeka agabuli ngeri - nga okusinga bakaliduggala. Amazima aka taano kebampamu fine week ewedde kamalamu essanyu - nali simanyi nti kakano nokusimba mu kifo nebwobanga mwoli tovuddemu yadde butiiki oba dakika, camera yo kasita ekubeera mu maaso, nga ebibyo biwedde. Luli walabanga parking attendant nosobola okola ebya Mr Bean. Naye kati wapi!



Gatako nabantu okufaanana obudde bwetulimu nakyo kimazemu amanyi. Bekyaye bulala - abamu december bamumenyemu bamutwalira ku 'ember'nga ezomuliro nanti. Ze'mboko zonafuna kakutanda neweyimiriza olabe oli akwanjulira pafumu gwatunda songa magezi kukwawukanya ku nsawoyo. Naye ate era kekaseera okuwuliza ku maloboozi gaba neighbours oba abantu bulijo bwemuyisanganya nga temwebuzanako. Nokufuna bu chocolates okuva mu bakozi banno okukulisa amazalibwa ga Yesu.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9193
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 815
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obulamu bwawano 4 Months ago  
Obulamu bwawano mbugelagelanyiza kubwekka nendaba nga waliyo ebintu byempulila nga mbisubwa..okugeza nga mubamu lwenogomba okuwulila ku matondo genkuba ku baati,wanno olusi enkuba etonya notamanya nakumanya mbu etonye.Nzijukila nga okuba taxi omukono bwotuka okuva mu nogamba kondakita nti masso awo.Bwotambulako mukibugga wenna nonyweza akasawo nga bwojja nti mujude millions kumbe olusi olinamu lukumi lukutusa gyolaga nebitano bya bodda.Sigya kwelabila ka nsalilako nawe kubuli kyogula mukatale ekitasoboka wanno.Last but not least the unconditional loadshedding,nga wanno wegomba kikutukeko naye tolikilaba.Mwe eyo temulina byemwegomba naye nga temubilabako nga ogyeko ebyendya,emikwano,abenganda no musana???
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#9197
rambuka (User)
Expert Forum Member
Posts: 524
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obulamu bwawano 4 Months ago  
i really miss the gathering at the kiyembe-----e katabi--entebbe------uganda----my love
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
peace
  The administrator has disabled public write access.
#9838
prettyd (User)
Junior Forum Member
Posts: 65
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Obulamu bwawano 1 Month, 3 Weeks ago  
Nze kyensize okukyawa wano yengeri abazungu gyebatusosolamu!Abaana mu makkubo ne buvuma gwe,bwebaba no tebakwegezezaamu kukukuba oba sinakindi okwasiza emmotoka awatali nsonga.okwo saako n'okutta oba okukutusaako obulabe lwaki?lwakuba oli mudugavvu!

ku mirimu omuzungu nebwasobya abakulu tebafuna maanyi gamunenya naye gwe kaddugala kolayo akantu katono olwo nga gwe bajjakugirayo n'ago'mubuto nga bakunenya.Bw'oba toyogerayogera nyoo musango ate bw'oyogera nalwo lutalo.olwo omuntu akole ki?



Endwadde eziri wano mpitirivu ate tezitegeerekeka olwala ekintu nga tomanyi ne gyekyavudde so nga endwadde ezo ewaffe tezabangayo.Ate nga n'abasawo abamu byebakola babimanyi kitono,abamu be bakubuuza kyewalwadde ng'ate bbo bebandikikubuulidde!Awo ne webuuza nti enjawulo ya U ne wano yeliwa?Ndaba n'abeU beesingira wadde bali corrupt naye atleast.



Ekirungi ekiri mu diaspora just ssente naye nyabo ennaku zino ndaba nga ezitakyalina nnyo nsa kubanga ebintu eU byeyongera ebbeyi buli lukya kyokka nga pound oba dollar yo ekka busi kati awo n'olaba nga tewali nyoo njawulo.



sijja kubeera negative all through ebirungi webiri bingi opportunities are everywhere if your eyes are open and observant.Naye omuganda agamba awalungi siwanyo!Tukole,tuyige,tukope,tulabuke tuddeyo tukulakulanye ensi yaffe!!!!
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement