Mweyo enjiri ya ba master blaster gyebabulira mwemuva bino. Era gyebunakoma obukaba obwo Abaganda bwemweteekako mu byemuyita ebyokusaaga, neba serial killers mujja kufuna abatemula abaana bammwe. Nga bannaffe wano a beeru, nga temukyamanyi na mulabe gyeyava, oba ngeri ki eyokumuzzayo.
JJaja wa Nantume ng’akaabira omugenzi. Mu katono bw’abadde afaanana.
Bya Moses Nyanzi
OMUYIZI attiddwa oluvannyuma lw’okusobezebwako omulambo gwe ne bagusuula mu nsiko. Teddy Nantume (16) abadde omuyizi mu Gayaza Mixed SSS mu siniya eyookusatu, yeyasangiddwa ng’attiddwa abantu.
Ettemu lino lyabaddewo mu kiro ekyakeesezza olwa Mmande mu Zooni ya Kyetume B e Gayaza mu ggombolola y’e Nangabo mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Jjajja w’omugenzi, Muky. Teddy Nantume yategeezezza nti yakomye okulaba ku muzukkulu we ono gwabadde abeera naye ku Ssande essaawa 9: 00 ez’olweggulo, ng’awerekera bassengabe abakyadde awaka.
Obudde we bwawungeeredde nga Nantume tannadda okutuusa enkeera lwe baamugambye nti Nantume yattiddwa.
Nnyina wa Nantume omuto, Muky. Juliet Ndagire, yagambye nti omugenzi yakomye okubeera naye akawungeezi ka Ssande namutegeezza nti agenda kugula engoye mu katale k’omubuulo akabeera e Gayaza ku Ssande.
Baayawukanye naye n’amuwa 500/- okulinnya bodaboda emuzze eka singa anaaba avuddeyo, wabula baakedde kumugamba nti yattiddwa.
Omulambo gwa Nantume gwasangiddwa mu kasiko nga wabulayo mita 200 okutuuka ewa Jjajja we, ng’akawale k’omunda kayuziddwa, ensingo ng’enyooleddwa era ng’emabbali we wasigadde engoye ze yaguze mu katale n’engatto ze yabaddemu.
Akulira Poliisi e Kasa-ngati, Meriton Muhimbula yasabye abatuuze okuyamba poliisi mu kunoonyereza ku butemu buno.
Tewannabaawo akwattibwa ku ttemu lino omulambo gwajjiddwawo Poliisi oluvannyuma lw’okugwekebejja negutwalibwa e Mulago.
Published on: Monday, 11th February, 2008