(Oba 1/4 kilo all purpose flour ne Akajiiko kamu aka baking powder)
Amagi 4
Sukaali ebijiiko ebiwuuta supu 5-6
(Yongerako katono oba kendeeza okusinziira ku kiwomeereze kyoyagala. Lozako.)
Ekikopo kya mata 1 1/2
(oyinza okutekamu nekuka Vanilla, for flavour)
Enkola;
Byonna ebyo biteeke lumu mu bbakuli, naddala kozesa eya pulasitika. Otabule ne kijiiko ekyo muti. Naye bwobeera ebyo tobirina kozesa ebbakuli yonna nejjiiko yonna. Wabula ebitaali bya kyuuma biyamba baking powder wo nasigala nga yenna akyakola bulungi.
Bijja kubeera nga bya kimmemmette, era bwebiyitiriira okubeera ebyo luzzi, yongeeramu kungaano, bwebiyitiiriira okukaluba yongeramu ku mata. Olina okuba nga obisena ne kijiiko nobikutulira ku mugo gwebbakuli.
Kati teeka butto mu kaseppiti ko akasiika, eccupa nga nnamba eya 1/2 Litre (eya beer bell). Otandike okuseena nekijiiko ekintabuli kyo nga bwoteeka mu butto eyeseze. Kati kozesa ekijiiko size ewuuta supu, bwobeera tolina kya muti, kozesa ekyo kyenyini kyowusisa supu wo. Okuva ku kijiiko ekimmemmette kino ojja kukisenda na ngalo yo. Okusinziira ku seppiti yo, oyinza okuteekamu ebindaazi nga kkumi buli mulundi. Bikuuse kyuuse ppaka nga bifuuse bya light brown. Awo bijjemu, linda biwolemu, gabula!!
Kalibatanya nze mbuzza nti nabuno obutini enyo bwebakazako bu "Saddam" nabwo ela recipe yenno.Njagala nga bwobulya butulika nga embelenge eza mawogola.
Bwomala nosunako katono ku kyokanze, nga aka chapati, noka rolling ne ngalo ku surface kwokoleera, nekakola nga akasota. Then noleeta akambe, nokutulakutula mu obutundutundu. Nobuyoola noteeka mu butto eyeseze. Okola obusota bungi, nosalalala lumu, notekamu bungi omulundi gumu. Nga oyagala bubeere extra crunchy, bwomala okukola obusota, buteekeeko mu oven mu 120 degrees, obudakiika nga butaano, then obujjemu osalesale. Ka ndowooze nti obwo bwe bu Hussein bwogamba.